Emirimu gisanyaladde okumala essaawa eziwerako, kkooti ensukkulumu mu Kampala bw’ekutte omuliro ku ssaawa nga 10 ne ddakika 10 ez’okumakya.

Omuliro, gukutte ku mwaliiro ogwokusatu, okutuula Ssaabalamuzi, era ekikka nga kiva mu kizimbe, okuyingira obwengula, kirabiddwako.

Okusinzira ku nsonda ezesigika, omu ku bakyala aliko oluggi lw’aguddewo okumpi ne offiisi za Ssaabalamuzi era amangu ddala, ekintu kibwatuse oluvanyuma lw’okusaako amataala.

Ekiri ku kkooti

Mu kiseera omuliro wegutandikidde, abalamuzi Eldard Mwangusha ne Mike Chibita, babadde batuuse, okutambuza emirimu gya leero.

Newankubadde Poliisi esobodde okwanguwa okuzikiza omuliro nga ne Poliisi erwanyisa obutujju, etuuse okutangira embeera okusajjuka n’okutangira abantu okumala gayingira ekifo, ekituufu ekivuddeko omuliro, tekimanyiddwa.

Kkooti, esangibwa mu bitundu bye Kololo.

VIDIYO!

Lindirira ebisingawo……