Entiisa ebuutikidde abatuuze mu bitundu bye Jakande mu kibuga Lagos mu Nigeria, ssemaka bw’afiiridde mu kaboozi ne muganzi we mu mmotoka.

Ssemaka ono, ategerekeseeko erya Koyejo ali mu gy’obukulu 40 yasangiddwa nga ye ne muganzi we, yafiiridde mu mmotoka.

Ssemaka Koyejo, abadde musajja mufumbo era abadde Yinginiya era kigambibwa akawungeezi k’olunnaku olwa Ssande, yakubidde mukyala we essimu nti aliko, emirimu emitongole, gy’agenda okumaliriza.

Akaboozi mu mmotoka

Wabula omu ku batuuze mu kifo emmotoka wesangiddwa, agambye nti ku Ssande akawungeezi, emmotoka yabadde yesukunda nnyo, okumala eddakika eziwera era yabadde alowooza, waliwo makanika aliko byakanika.

Okuva ku Ssande, emmotoka yabadde mu kifo kimu, okutuusa abatuuze, webatemeza ku Poliisi okugyekeneenya.

Okugimenya oluggi, ng’omusajja n’omukyala bafiiridde mu kikolwa, nga baasobodde okumenya emitto, okwesa empiki era omusajja abadde yasigadde mu ssaati yokka ate omukyala nga yasigadde mu kaleega.

Wadde emirambo gitwaliddwa Poliisi okunoonyereza okuzuula ekyavuddeko okufa kwabwe, abatuuze bavumiridde ekya ssemaka okudda mu kaboozi mu mmotoka ssaako n’omukyala, okuwebuula ekitiibwa kyabwe.

Ate omutukuvu Paapa Francis abotodde ekyama nti omukulembeze w’eggwanga erya Russia, ali mu ntekateeka okuyimiriza okulwanagana wakati wa Russia ne Ukraine sabiiti ejja ku Mmande nga 9, omwezi guno Ogwokutaano, 2022.

Paapa agamba nti bwe yali akyazizza Ssaabaminisita wa Hungary Victor Orban omwezi oguwedde Ogwokuna 2022, yamutegeeza nti Vladimir Putin, nga 9, omwezi guno, lw’agenda okuyimiriza okulwanagana.

Paapa Francis

Paapa bw’abadde ayogerako n’omukutu gw’amawulire mu ggwanga erya Itary, agambye nti balina essuubi, nti Russia, yakumiriza eky’okutta abantu mu Ukraine.

Wabula America egamba nti bafunye amawulire nti Russia, eri mu ntekateeka okulangirira olutalo ku Ukraine, nga 9, omwezi guno.

Kigambibwa abantu abasukka mu 1,000 battiddwa olwa Russia okulumba Ukraine nga 24, Ogwokubiri, 2022.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=hO-ACYUIYk4