Abantu 20 bafiiridde mu kabenje ka bbaasi ku luguudo lwe Fort Portal-Kampala enkya ya leero nga n’abadusiddwa mu ddwaaliro nga bali mu mbeera mbi, omuwendo tegumanyiddwa mu kiseera kino.
Akabenje kabadde ku kyalo Sebitoli, kilo mita 15 okuva mu kibuga Fort Portal okumpi ne Kibaale National Park.
Omu ku batuuze ayogeddeko naffe agambye nti bbaasi ya Link namba UBA 0035S ebadde evudde mu Kampala okudda e Fort Portal, evudde ku kkubo neyefuula emirundi egiwera.
Wabula Faridah Nampiima, omwogezi wa Poliisi y’oku nguudo, agambye nti ku bafudde 20, 13 abantu bakulu, 7 baana bato.
Nampiima era agambye nti 11 babadde basajja ate 9 bakyala ate abafunye ebisago batwaliddwa mu ddwaaliro lye Buhinga okufuna obujanjabi ssaako n’emirambo okwekebejjebwa.
Nampiima era agamba nti ekivuddeko akabenje tekimanyiddwa mu kiseera kino wabula okunoonyereza kutandikiddewo.
Akabenje, kabaddewo ku ssaawa 4:30 ez’okumakya.