Poliisi ekutte ssemaka Joseph Kyozila myaka 50, omutuuze ku kyalo Kikunu mu Tawuni Kanso y’e Idudi mu disitulikiti y’e Bugweri, ku misango gy’okusobya ku mwana aliko obulemu.
Ssemaka Kyozila, asobeza ku mwana enkya ya leero, ali mu gy’obukulu 13.
Okusinzira ku taata w’omwana Samuel Nyende, enkya ya leero, akedde kusaba ssemaka Kyozila okusigaza ku mwana we, bw’abadde akedde mu katale, okubaako ebintu by’agula.
Nyende agamba nti agenze okudda awaka, nga neyiba we Kyozila ali ku mwana amusobyako era amangu ddala akubye enduulu, esombodde abatuuze ssaako n’okwagala okumukuba.
Wabula Mohammed Kazungu, Kansala w’abantu abaliko obulemu mu Tawuni Kanso y’e Idudi, awanjagidde ebitongole ebikuuma ddembe, okwanguyiriza mu kunoonyereza, omwana okufuna obwenkanya.
Ate Diana Nandawula, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Busoga East, agambye nti Kyozila, asindikiddwa ku kitebe kya Poliisi e Bugweri era okunoonyereza kutandikiddewo.
Ate Poliisi y’e Kiira eyongedde amaanyi mu kunoonya abatemu, abenyigira mu kutta omugagga Shaban Malore sabiiti ewedde.
Malore, yattibwa mu kiro nga 14, omwezi guno, Ogwokutaano, 2022 ng’abatemu, baamukuba amasasi mu makaage ku kyalo Buweera mu ggoombolola y’e Bugembe mu disitulikiti y’e Jinja.
Wabula mu kunoonya abatemu, abenyigira mu kutta Malore, Poliisi ekutte ab’oluganda musanvu (7), okuyambako mu kunoonyereza.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kira, James Mubi, abakwate bali ku misango gy’akutta muntu.

Mubi mu ngeri y’emu agambye nti aba famire baludde nga balina obutakaanya ku nsonga y’ebyobugagga omuli ettaka, emmotoka ssaako n’enju.
Poliisi egamba nti wadde 7 bali mikono gyabwe, okunoonyereza okuzuula ekituufu, kukyagenda mu maaso.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=tPTUudTuyZM&t=292s