Poliisi ekutte abantu babiri (2) ku misango gy’omuwala, eyakukusibwa n’atwalibwa mu kibuga Dubia, ku mirimu gy’okwetunda.

Omuwala myaka 21, yakomezeddwawo mu Uganda wabula yageenze okudda nga yafunye olubuto ssaako n’okusiigibwa siriimu nga n’ebitundu by’ekyama byongedde okumusiiwa nga kigambibwa yafunye endwadde z’obukaba.

Okusinzira ku Agness Igoye, amyuka ssentebe w’ekitongole ekirwanyisa okukusa abantu mu Uganda, omuwala okutaasibwa, yabadde atuuse ku kisaawe Entebbe, nga baagala okugyako kumuggyako paasipooti ye.

Kigambibwa omuwala yabadde akooye emirimu gy’okwetunda nga balina okumuzza mu Uganda kyokka yabadde akyabanjibwa ssente obukadde 20, nga y’emu ku nsonga lwaki yabadde agibwako paasipooti, Poliisi kwe kutaasa.

Wabula Igoye agamba nti abakwate okuli Samuel Wabussajja ne Jib Sseguya basindikiddwa eri kitongole ekinoonyereza ku misango ekya Criminal Intelligence and Investigations Directive[CID], okuyambako mu kunoonyereza.

Igoye agamba nti omuwala (amannya gasirikiddwa), okutwalibwa mu kibuga Dubia, yakukusibwa omukyala ategerekeseeko erya Cathy era yatwalibwa mu February, 2022 bwe yali amusuubiza omulimu kyokka bwe yatuuka mu kibuga Dubia, yamutwala mu kwetunda.

Mu kiseera kino Poliisi ya CID esobodde okutwala omuwala okufuna obujanjabi nga n’okunoonya abantu bonna abenyigidde mu kukusa bannayuganda kugenda mu maaso.

Mungeri y’emu Igoye alambuludde nti okunoonyereza kulaga nti bangi ku bannayuganda, bakukusibwa nga beerimbise okutwalibwa okukyala mu kibuga Dubia.

Alipoota ya Poliisi ey’omwana 2021, poliisi yafuna emisango 421 egy’abantu abakukusibwa ate mu 2020, yafuna emisango 214.