Omuyimbi Lydia Jazmine ayongedde okwogeza abasajja obwama bw’alaze nti ye ddala mukyala wa njawulo nnyo.

Mu kiseera kino, Jazmine y’omu ku bakyala mu kisaawe ky’okuyimba abaliko olw’ennyimba ze ez’omukwano omuli Masuuka, Omalawo, Olindaki, Tonkozesa, I love you Bae n’endala.

Jazmine ng’omuntu omulala yenna, ategeera okulya obulamu era yasobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okukyankalanya abagoberezi be n’okusingira ddala abasajja.

Laba Work

Agamba nti yabadde ku Venice Beach mu California era yasobodde okweyambisa omukisa ogwo, okulaga omubiri.
Jazmine talina musajja amanyikiddwa mu kiseera kino era waliwo abalowooza nti ali mu kwetega, okusobola okuva ku mudaala gwa banoonya.

VIDIYO!