Omuliro ogutanamanyika kwe guvudde gusanyizaawo ebisulo by’abayizi 4 ku ssomero lya Bwera Senior Secondary School mu disitulikiti y’e Kasese.

Buli kisulo kibadde kisulwamu abayizi 30.

Okusinzira ku bakulu b’essomero, tewali muyizi yenna afunye bulabe olw’omuliro okutandiika mu kiseera ng’abayizi bakyali mu kusoma kw’ekiro mu kiro ekikeseza olwa leero.

Omuliro gusanyizaawo ebintu by’abayizi omuli engoye, ebitabo, emifaliso, engatto, ebaafu n’ebintu ebirala nga biri mu bukadde bwa ssente.

Edgar Bwambale, omu ku bayizi ku ssomero agamba nti omuliro guteeberezebwa okuba nga guvudde ku masanyalaze.

Mu kiseera kino Poliisi eyungudde basajja baayo okunoonyereza ekivuddeko omuliro.