Mu kiseera nga bannayuganda bakaaba olw’ebbeeyi y’ebintu ebyongedde okulinnya, abayimbi ne bannakatemba bakoze nnyo, okuyamba bannayuganda okulwanyisa situleesi olw’ennyimba zaabwe.
Olw’embeera eri mu ggwanga, okuteeka ssente mu kisaawe ky’okuyimba sikyangu wabula wosomera bino nga bangi ku bayimbi, balemeddeko okuwa bannayuganda ennyimba okubaggyako ebirowoozo.
Wakati mu kutumbula talenti, aba Hitnature balemeddeko okulaga nti ddala balina talenti.
Aba Hitnature bakwataganyeeko ne muninkini wa Sheilah Gashumba, omuyimbi Rickman ManRick ne bafulumya oluyimba ‘sikyetegeera’.

Mu luyimba, Hitnature ne Rickman balaga embeera y’okulya obulamu mu bbaala obudde bw’ekiro omuli abamu okulya ku ssente zaabwe nga tebalowooza lwa nkya.
Newankubadde bangi ku bannayuganda bakaaba obwavu, mu luyimba, Hitnature ne Rickman balaga nti waliwo abalya ssente nga tebalowooza ku famire zaabwe nga waliwo abasula nga tebafunye kya kulya. Aba Hitnature balina ennyimba ez’enjawulo omuli Muliwa, Twazikoze, Oyomba, Byenkola, Mamacita, Nkulinze, Bakunazaaki n’endala, ezibafudde abayimbi abenjawulo mu ggwanga.
Audio!