Minisitule y’ensonga z’omunda mu ggwanga ereese amateeka amaggya ku bannayuganda bonna abandyagadde, okutwalibwa ku kyeyo okunoga ensimbi omuli Dubia, Saudi Arabia, Turkey ssaako n’ensi endala.

Ku mateeka amaggya agaleteddwa, buli muntu yenna okutwalibwa, balina okumwekebejja okuzuula embeera gy’alimu ku bitundu by’omunda omuli ensigo, nga kikoleddwa, okutangira eky’okuggyamu abantu ebitundu byabwe ate Kampuni ezibatutte ne zidda mu kwebuzabuza.

Omwogezi wa Minisitule y’ensonga z’omunda mu ggwanga Simon Mundeyi agamba nti Kkampuni ezitwala abantu, zezirina okutwala abantu okwekebejjebwa.

Mundeyi agamba nti omuntu yenna okulinya ennyonyi okutwalibwa ku kyeyo, alina okulaga ebbaluwa eraga nti yakebeddwa ebintu by’omunda.

Minisitule weviiriddeyo nga bangi ku baana bakomezebwawo okuva mu nsi z’ebweru n’okusingira ddala Saudi Arabia bali mu maziga nga bagamba nti ensigo zagibwamu.

Mu kiseera kino omuwala Judith Nakintu ali mu kkooti ku bigambibwa nti bwe yali mu ggwanga erya Saudi Arabia, bamugyamu emu ku nsigo ze mu ddwaaliro lya King Fahad Hospital e Jeddah.

Ate Poliisi ekutte abantu 4 abaludde nga benyigira mu kuliisa abayizi massomero enjaga nga bagitambuliza mu by’okulya.

Abakwate,  bonna batuuze ku kyalo Kungu mu Divizoni y’e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso nga basangiddwa nga balina fakitole yaabwe.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, abakwate kuliko Matsanga Racheal, Kasozi Suleiman, Ayo Joshua ne Mbabazi Jovia, nga baludde nga batambuza eby’okulya omuli enjaga mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo Bugolobi, Kulambiro ne Kira.

Enanga ng’asinzira ku kitebe kya Poliisi e Naguru, agambye nti abakwate enjaga baludde nga bagiteeka mu by’okulya omuli cookies, bisikwiti, pancakes, Chapati, amandazi, buto omuli enjaga ssaako n’ebintu ebirala.

Okukwatibwa, kyavudde abamu ku bayizi ku ssomero lya bawala Poliisi ly’egaanye okwatuukiriza okugula eby’okulya omuli enjaga ku lunnaku lwa ppaate yaabwe.

Poliisi egamba nti singa omwana yenna afuna eky’okulya omuli enjaga, olunnaku alumalako musanyufu era abaana 10 abazuuliddwa nga balina eby’okulya omuli enjaga, baagobeddwa ku ssomero.

Mungeri y’emu Poliisi mu Kampala, etandiise okunoonyereza ku basirikale baabwe, abaalumbye Poliisi y’e Ntinda, akawungeezi k’olunnaku Olwomukaaga mu kusika omuguwa okwabaddemu, omuyimbi Moses Ssali amanyikiddwa nga Bebe Cool.

Kigambibwa, omusajja eyabadde mu ngoye eza buligyo bwe yabadde ku City Bar e Ntinda, yakolobodde emmotoka ya Bebe Cool.

Bebe Cool agamba nti bwe yabadde agezaako okunenya omusajja okolobola emmotoka ye, yaggyeeyo emmundu, ekyayongedde okusajjula embeera.

Amangu ddala, waliwo omusirikale eyayitiddwa, omusajja ne bamugyako emmundu ye ssaako n’okutwalibwa ku Poliisi y’e Ntinda.

Bebe Cool agamba nti nga batuuse ku Poliisi y’e Ntinda, waliwo abasirikale abatuuse ku Poliisi ne bateeka abasirikale ku midumu gye mmundu, omusajja eyabadde akwatiddwa natwalibwa ssaako emmundu ye.

Wabula amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, agamba nti omusirikale agambibwa, okolobola emmotoka ya Bebe Cool ye Capt Namara.

Owoyesigyire agamba nti Poliisi egenda kweyambisa kkamera eziri mu kifo okwekeneenya embeera yonna eyabaddewo wabula ne Capt Namara ali mu ddwaaliro, agamba nti yakubiddwa, basajja ba Bebe Cool.

Ku Poliisi e Ntinda, Bebe Cool yaguddewo emisango ebiri (2) omuli okutomera emmotoka ye ssaako n’ okumutisatiisa.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=blfuRkrSN2U&t=583s