Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Namukozi west LCI Zone mu ggombolola y’e Mityana era mu disitulikiti ey’e  Mityana namukadde bwagiridde mu nnyuma ne muzukulu we era bonna bafudde.

Abafudde kuliko jjajja Annet Nakabugo atemera mu gy’obukulu 55 ne muzukulu we Kabanda Nicolas myaka 3 n’ekitundu.

Ekivuddeko omuliro tekinamanyika kyoka omuzukulu omulala Kalule Gideon myaka 7 asimatuse.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Wamala,, Nobert Ochom, emirambo gitwaliddwa mu gwanika lye ddwaaliro ekkulu e Mityana okwekebejjebwa.

Mungeri y’emu agambye nti kiteberezebwa nti omuliro gwavudde ku kadooba eyalekeddwa mu nnyumba ekiro kyoka Poliisi etandiise okunoonyereza ku muliro ogwo.