Omusajja Deo Wasswa myaka 27 nga mutuuze ku kyalo Kiyindi mu Tawuni Kanso y’e Kiyindi mu disitulikiti y’e Mukono, akangudde ku ddoboozi ng’alumiriza abasirikale ku Poliisi y’e Kiyindi okumulwaza ebintu by’ekyama.

Omusajja Wasswa agamba nti nga 15, omwezi guno Ogwomukaaga, 2022, abasirikale baalumba amakaage ne bamukuba ku biragiro bya John Bosco Amandara.

Agamba nti abasirikale baamusika ebitundu by’ekyama ssaako n’okubinyiga era okuva olwo, byagaana okuddamu okukuba Saluti.

Wasswa, agamba nti obusajja bw’anuuka ate bweyongedde okuzimba era wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti embeera gya limu, obulumi bweyongera buli lunnaku.

Wasswa ku mbeera y’abasirikale okumukuba

Maama wa Wasswa, Cissy Namugga agamba nti betaaga ssente eziri mitwalo 50, okwekebejja omwana we n’okufuna obujanjabi.

Namugga, mungeri y’emu asabye Poliisi okunoonyereza ekyakubya mutabani we.

Maama wa Namugga ng’asaba okuyambibwa ku mbeera ya mutabani we

Wasswa agamba nti ku Poliisi yategeezebwa nti y’omu ku babbi, abaludde nga benyigira mu kubba Pikipiki mu kitundu ekyo, ekintu ky’ okumuwayiriza.

Mu kiseera kino, mukyala wa Wasswa yadduka dda olwa bba okunuuka ebintu by’ekyama ne bigaana okuddamu okukuba saluti, nga tasuubira nti biyinza okuddamu okwekyanga.

Wasswa yali musajja avuga bodaboda okunoonya ssente okulabirira famire kuba musajja abadde alina omukyala n’abaana babiri (2).

Wabula olw’obulwadde, omugagga yamugyeko Pikipiki era kati talina mulimu ate nga yetaaga ssente okufuna obujanjabi.

Wasswa ali mu bulumi, ebitundu by’ekyama byongedde okuzimba, okulumwa omugongo nga tasobola kukola mulimu gwonna mu kiseera kino.

Ku nsonga ezo, ssentebe wa LC 3 mu Tawuni Kanso y’e Kiyindi Isaac Edward Mazinga, awanjagidde abakulu mu kitongole ekya Poliisi okunoonyereza okuzuula ekyakubya omuntu waabwe kuba kati ali mu mbeera mbi.

Ate omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, Hellen Butoto asabye Deo Wasswa okutwala ensonga ku kitebe kya Poliisi e Lugazi, kiyambeko Poliisi okunoonyereza ku basirikale baabwe.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=NYVnn5JTHMU&t=3s