Poliisi y’e Katwe eyongedde amaanyi mu kunoonyereza ku nsonga z’omusajja eyakubiddwa mu maka g’omuyimbi Spice Daina mu zzooni ya Ngobe e Bunamwaya mu Monicipaali y’e Makindye Ssabagabo mu disitulikiti y’e Wakiso ku luguudo lwe Salaama mu Makindye, Kampala.

Omusajja Nsamba Henry myaka 27, sabiiti ewedde ku Lwokuna nga 30, omwezi oguwedde Ogwomukaaga, 2022 ku ssaawa nga 2 ez’ekiro, yasangibwa ng’ awalampye ekisakaate ky’omuyimbi Spice Diana era yali agudde munda.

Spice bimusobedde

Kigambibwa, abakuumi  bamuggya munda ne bamuteeka ebweru era abatuuze bamuzingizza ne bamukuba emiggo, amayinja ssaako n’ensambaggere era Poliisi wetuukira okutaasa ng’ali mu mbeera mbi.

Abasirikale batwala Nsamba mu ddwaaliro ekkulu e Mulago era yafa bakamutuusa mu ddwaaliro.

Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirwano agamba nti okunoonyereza kulaga nti abamu ku batuuze bagamba nti abakuumi ba Spice Daina, bebaakuba Nsamba ne bamuleka ng’ali mu mbeera mbi, ekyavuddeko okufa kwe.

Afande Luke

Mu kiseera kino Poliisi ekutte abantu babiri (2) okuli Stuart Ssemaganda nga kigambibwa abatuuze obwedda bamwogerako ng’omu ku bakanyama ba Spice Daina abaakuba Nsamba.

Mungeri y’emu Poliisi ekutte omuwala Amina Kimera akola emirimu gy’awaka egy’okulongoosa, ku bigambibwa nti naye aliko kyamanyi.

Omu ku basirikale agaanye okwatuukiriza amannya ge, agamba nti abatuuze okulumiriza Ssemaganda, y’emu ku nsonga lwaki yakwattiddwa.

Ssemaganda ne Amina bali ku Poliisi y’e Katwe era olunnaku olw’eggulo bagiddwako sitetimenti.

Johnson Matovu, taata w’omugenzi agamba nti mutabani we Nsamba abadde musajja ayagala okuyimba era abadde mukwano gwa Spice Daina okumala emyaka egisukka 5.

Taata Matovu agamba nti Nsamba abadde yakuba bulooka, okunoonya ssente za situdiyo era ne Spice Daina abadde akimanyiko.

Ku Poliisi e Katwe, agamba nti mutabani we tabadde mubbi ng’ayagala Poliisi okunoonya abantu bonna abenyigidde mu kutta Nsamba kuba naye ng’omuzadde yetaaga obwenkanya.

Spice mu biseera bye eby’eddembe

Okuva sabiiti ewedde, Spice Daina tannaba kuvaayo okwogera ku nsonga ezo, ali mu kunoonya ssente era kigambibwa essaawa Nsamba webamukubira, Spice teyaliiwo.

Mu Uganda, Spice y’omu ku bayimbi abakola obulungi mu kisaawe ky’okuyimba olw’ennyimba ze omuli Mbikka, Emergency, Bwotyo, Toli Weka, Sankalebwa, Kwata Wano, Omusheshe n’endala.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=rqNzDC7v-hA