Poliisi y’e Katwe, etandiise okunoonyereza ku by’omuyizi Bright Namusoke myaka 20, abadde mu S6 ku Kitebi Senior Secondary School okwetta.
Namusoke, yesse akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku ssaawa nga 10, nga yetugidde mu nnyumba ya bazadde be ku kyalo Ngobe e Bunamwaya mu Monicipaali y’e Makindye Ssabagabo mu disitulikiti y’e Wakiso.
Okusinzira ku famire, Namusoke yakomyewo ku ssomero nga yenna anyiize, kwe kutegeeza nti waliwo omusomesa amuvumye ate nga yamukyawa nnyo era yatuukidde mu nnyumba.
Wabula nga wayise eddakika, Namusoke yasangiddwa mu nnyumba nga yeetuze n’omuguwa, ekyalese famire n’abatuuze nga bali mu kiyongobero.
Poliisi weyatuukidde, nga Namusoke z’embuyaga ezikunta era omulambo gwasindikiddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okwekebejjebwa.
Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti Poliisi etandiise okunoonyereza, waliwo abagiddwako sitetimenti era ebiriwo biraga nti Namusoke, abadde mulwadde wa mutwe ng’atere okutabuka.