Ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni atadde omukono ku ndagaano ne Pulezidenti w’ekibiina ki Democratic Party (DP) Nobert Mao nga basinzira mu State House Entebbe akawungeezi ka leero.

Endagaano etuumiddwa “Cooperation Agreement”, egendereddwamu ekibiina ki NRM ne DP okukolagana mu kutambuza eggwanga.

Mu kuteeka omukono ku ndagaano, Ssaabawandiisi w’ekibiina ki NRM Richard Todwong ne Gerald Siranda owa DP babaddewo.

Mungeri y’emu ne Edwin Karugire, munnamateeka wa Pulezidenti Museveni naye abaddewo.