Omusajja ali mu myaka 30 aswadde mu maaso g’abatuuze, akwatiddwa lubona ng’ali mu kaboozi mu mmotoka ebbali w’ekkubo.

Omusajja akwatiddwa ku ssaawa nga 4 ez’ekiro bw’abadde ali mu kikolwa ky’omukwano, ekirese abatuuze nga bali mu kwewunya.

Akwatiddwa lubona

Omu ku batuuze (amannya gasirikiddwa) agamba nti yalabye emmotoka ng’epakinze ebbali w’ekkubo okumala eddakika ezigenda mu 10 era olw’okutya, kwe kutemya ku Poliisi n’abakulembeze ku kyalo.

Poliisi weyatuukidde, nga waliwo abatuuze abekozeemu omulimo okulumba emmotoka, kwe kuzuula omusajja n’omukyala nga bali mu kwerigomba.

Wadde omusajja yasabye Poliisi okumusonyiwa, abatuuze balemeddeko nga bagamba nti yenyigidde mu kikolwa ekyesitaza, okudda mu kaboozi mu mmotoka.

Vidiyo!

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=k6vT1QMASRo