Kyaddaki omuyimbi Levixone laze lwaki abadde ali ku lusegere n’omuyimbi nannyini kitone Desire Luzinda.
Amawulire gabadde gatambula nti Levixone ali mu laavu ne Desire Luzinda era mbu bali mu ntekateeka za kwanjula na mbaga.

Wabula Levixone ayongedde okulaga nti tali ku bigambo by’abantu, afulumizza vidiyo y’oluyimba Yoya ng’ali n’omuyimbi Ray G.
Oluyimba Yoya lwa mukwano era mu ngeri yonna Levixone ng’omusajja ategeera okutumbula talenti, abadde alina okweyisa ng’omuntu ali mu laavu n’omukyala Desire Luzinda.

Wadde waliwo era abalemeddeko nga bagamba nti Levixone ne Desire bali mu laavu, vidiyo y’oluyimba mulimu Desire n’abantu abenjawulo, ng’akabonero akalaga nti ebifaananyi byali bya vidiyo.
Vidiyo
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=1xUje0V_FiY