Kyaddaki Poliisi ekutte omukyala ku misango gy’okutta muganzi we.
Safina Mohammed Adizatu nga amanyikiddwa nga Safina Diamond ku mukutu ogwa Instagram nga munnansi wa Ghana yakwatiddwa ku misango gy’okutta omuntu.
Safina abadde mu laavu ne muganzi we okumala ebbanga eriwerako wabula yamusse bwe yabadde yakadda okuva e Canada.

Kigambibwa yakutte ekintu ekigambibwa okuba ekiso oba akambe kwe kufumita muganzi we ku nsingo ne mu lubuto emirundi egiwerako era kigambibwa omusajja yafiiriddewo.
Safina yatwaliddwa mu kkooti ku Adenta Complex ku misango gy’okutta omuntu mu bitundu bye Botwe.
Lwaki yamusse!
Bamu ku bannansi bagamba nti wadde Safina abadde mu laavu n’omusajja okumala ebbanga eriwerako, kigambibwa obuzibu bwavudde ku ssente.
Bannansi bagamba nti omusajja okudda awaka, yabadde alina ssente mpitirivu era kigambibwa y’emu ku nsonga lwaki Safina yamusse, okutwala ssente zonna.
Ate abamu bagamba nti, omusajja yategedde nti Safina alina omusajja omulala era y’emu ku nsonga lwaki yamusse, okutwala ssente zonna, okuzirya ne muganzi we omulala.
Safina lwaki ayogeddwako nnyo mu ggwanga Ghana!
Y’omu ku bayimbi abato mu Ghana era mu kibiina ki Sinare Entertainment era mukyala w’abasajja nnyo, abakyusa nga ngoye.
Safina mukyala musiraamu era ali mu myaka 30.
Mukwano gwa Safina Kelly ayogedde!
Kelly agamba nti muganzi wa Safina abadde amanyikiddwa nga Frank era abadde naye mu laavu emyaka egisukka 3.
Kelly agamba nti Safina agamba yasse Frank mu ngeri y’okwetaasa kuba yabadde agezaako okumusobyako.
Kigambibwa Frank yalumbye Safina okusinda omukwano, nga Safina tali mu mbeera, ekyavuddeko okulwanagana.
Kelly agamba nti mu ngeri y’okwetaasa, Safina kwe kufumita Frank mu ngeri y’okwetaasa.
Poliisi eyogedde!
Poliisi egamba nti etandiise okunoonyereza okuzuula ekituufu era egumizza aba famire ne ggwanga lyonna, okuba abakakamu.
Wadde Safina ali ku misango gya kutta muntu, ku Poliisi yegaanye emisango gyonna.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=-LqORKcwKJ4