Mu nsi y’omukwano, ebintu bingi ebiyinza okuvaako obutakaanya wabula omusajja oba omukyala, sikirungi okutwalira amateeka mu ngalo.
Mu Uganda, Poliisi efunye emisango egy’enjawulo nga givudde ku butakaanya mu baagalana, abamu battiddwa era bangi abali makkomera.

Lwaki Weasel ali mu mawulire mu kiseera kino?
Omuyimbi Weasel Manizo okuva mu Goodlyfe y’omu ku bayimbi abakola obulungi mu kisaawe ky’okuyimba wadde yali wamaanyi nnyo mu kiseera nga mukwano Mowzey Radio tannafa.
Oluvanyuma lwa Mowzey okufa nga 1, February, 2018 ku Case Medical Centre, mu Kampala, obulamu bwa Weasel bwakyuka.

Abamu ku mikwano gye, bagamba nti oluvanyuma lwa Mowzey okufa, Weasel yeyongera okunywa omwenge, ssente zakendeera ssaako n’obulamu okukyuka mu ngeri ez’enjawulo.
Wadde Weasel muyimbi mulungi, mu kiseera kino ali mu mawulire ku misango gy’okukuba mukyala we Sandra Teta.
Weasel yafuna Sandra Teta oluvanyuma lw’okufuna obutakaanya ne baawukana n’eyali mukyala we Talia Kassim nga baali balwanagana kumpi buli lunnaku.
Amawulire, galaga nti Weasel yakuba Sandra oluvanyuma lw’okudda awaka nga yali atamidde nnyo, okuva sabiiti ewedde, abadde mu mawulire.

Kigambibwa, Sandra alina ebbaala mu bitundu bye Ntinda gy’akolera kyokka yava ku mulimu kwe kugenda mu bbaala ya Nomads bar e Bbunga – Ggaba ng’ali ne mikwano gye okudda mu kunywa.

Okudda awaka ekiro nga yenna atamidde, kigambibwa y’emu ku nsonga lwaki Weasel yava mu mbeera okutwalira amateeka mu ngalo, okudda ku mukyala we okumukuba.
Weasel aliwa?
Wadde Weasel alina amaka mu zzooni y’omu Ssempa e Makindye, kigambibwa oluvanyuma lw’okukuba kabiite we Sandra Teta, abadde takyasulawo.

Waliwo abagamba nti Weasel alina amaka ag’enjawulo era balowooza nti kati asula mu maka g’e Ntebbe.
Weasel wadde musajja amanyikiddwa okukuba abakyala, waliwo abagamba nti musajja mutitiizi nnyo nga y’emu ku nsonga lwaki yekweka olw’okutya Poliisi okumunoonya okusibwa.
Ssentebe w’ekyalo abotodde ebyama!
Ssentebe w’ekyalo Ssempa e Luwafu, Nassuna Bukalaami agamba nti wadde Weasel neyiba we, yagaana okweyanjula eri akakiiko ku nsonga ez’enjawulo.
Ssentebe Bukalaami agamba nti ebbanga ly’amaze mu ntebe, talabangako mukyala wa Weasel Sandra Teta ng’azze mu offiisi ye ku nsonga yonna.

Agamba nti yali akolagana bulungi ne Weasel ne Mowzey kyokka oluvanyuma lwa Mowzey okufa, Weasel yakyuka era tebaddangamu kumukkirizza kuyingira mu ggeeti.
Ssentebe Bukalaami era agamba nti wadde yawulidde nti omukyala Sandra yakubiddwa, omukyala tannaba kugenda mu offiisi ye, okwemulugunya ku nsonga yonna.
Mungeri y’emu agamba nti yafuna okutegeezebwa nti Weasel yakuba omukozi w’awaka kyokka wadde yabayita mu offiisi ye, yagaana okuggya era mbu ensonga bazitwala ku Poliisi.
Ssentebe Bukalaami era awakanyiza ebigambibwa nti yafuna enguzi okuva eri Weasel, okudibaga emisango gyonna egiyinza okumusibya.
Alemeddeko nti Mowzey yali mutuuze mulungi nnyo kyokka Weasel kimulemye.
Nga ssentebe w’ekyalo, Bukalaami awadde omukyala Sandra amagezi okugenda mu offiisi ye, okufuna ebbaluwa eyinza okumuyamba okutwala Weasel ku Poliisi ne kkooti.
Okunoonya ssente!
Omu ku mikwano gya Sandra Teta ategerekeseeko erya Stella agamba nti Sandra ng’omukyala alina okunoonya ssente okutambuza obulamu n’okulabirira abaana.
Stella agamba nti Weasel takyalina ez’okulabirira abaana n’omukyala.
Agamba nti Sandra alina okunoonya ssente okufuna eky’okulya n’ebintu byonna omukyala byayinza okwetaaga mu bulamu.
Abakyala bakaaba ku kyakoleddwa!
Oluvanyuma lwa Weasel okukuba kabiite we Sandra, abantu bangi nnyo bavuddeyo nga bavumirira ekyakoleddwa n’okusaba abantu abenjawulo okuvaayo okuyingira mu nsonga.
Jolly Mutesi eyali Nnalulungi w’e Rwanda mu 2016, agamba nti, ” When impunity for violence against women becomes a norm, this is exactly what happens. This is a heinous act and should be unpardonable. Domestic violence shouldn’t be condoned as a private matter, we need to join hands as a society and end impunity for crimes committed against women“.

Ate Daniella Atim Mayanja naye avuddeyo ku nsonga ezo ku Insagram era ye agamba nti, “Sandra needs all of our help, in any form. She needs all of us to raise our voices to help her with the first and most important thing her confidence. Dear ladies, there is no better time to empower a fellow woman than now. All you self-proclaimed feminists the time is now. Let’s Speak up, let Sandra’s voice be heard through ours. Sandra’s children deserve better.#healinghearts“.
Vidiyo ya ssentebe w’ekyalo