Munnamaggye Lance Corporal John Nuwagira, asindikiddwa ku limanda mu kkomera ky’emaggye e Makindye, ku misango gy’okudda ku mukyala wa mukamaawe, okutabaala ebyalo.

Munnamaggye Lance Corporal Nuwagira asimbiddwa mu kkooti y’amaggye e Makindye, ebadde akubirizibwa ssentebe waayo Brigadier Robert Freeman Mugabe.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, mu 2021 e Makenke mu disitulikiti y’e Mbarara, Lance Corporal Nuwagira yasaba omukwano Annet Kobusingye, mukyala wa mukama we Lt. Robert Turyahabwe, eyali asindikiddwa mu ggwanga lya Somalia, okuzza emirembe.

Mu kiseera ekyo, Lance Corporal Nuwagira, kigambibwa yategeeza Kobusingye okutta ekyama, besanyuse mu ngeri y’okusinda omukwano, okusinga okudda mu kulinda Lt. Turyahabwe, nga buli kiro, empewo, emukankanya amatama.

Mu kkooti, Nuwagira yegaanye emisango gyonna era oludda oluwaabi lusabye okuboongera akadde nti bakyanoonyereza, ekiwaliriza ssentebe wa kkooti Brigadier Robert Freeman Mugabe, okusindika Nuwagira ku limanda okutuusa nga 29, omwezi guno Ogwomunaana, 2022.

Kigambibwa Lt. Turyahabwe yatwala Lance Corporal Nuwagira oluvanyuma lw’okufuna amawulire nti mukyala we Kobusingye abadde ali mu mukwano ne Nuwagira, ekikolwa eky’obwenzi.

Ate abantu 5 basindikiddwa ku limanda ku misango gy’okusangibwa n’emmundu n’okugyeyambisa mu kubba mu ngeri emenya amateeka.

Abakwate basimbiddwa mu kkooti y’amaggye e Makindye era ebadde ekubirizibwa Brigadier Robert Freeman Mugabe.

Bano kuliko Faizal Mutaawe nga mutuuze mu zzooni ya Karina e Namasuba, Makindye, Jonathan Drake Mawejje nga mutuuwe we Madirisa e Makindye, Teopista Mbabazi ne Ashraf Ssekulima Ssendawula nga bonna batuuze be Namagoma mu tawuni Kanso y’e Nsangi mu disitulikiti y’e Wakiso ssaako n’omuvubi Muhammad Balikoowa.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, nga 15, Ogwomukaaga, 2022 ku ssaawa 4 ez’ekiro, ku kyalo Kiyanja mu Tawuni Kanso y’e Kyengera mu disitulikiti y’e Wakiso, abakwate benyigira mu kubba Peter Wahadatu Pikipiki ye namba UFJ 779M nga myufu nga yalimu akuuma ka Tulaaka, nga beyambisa emmundu ekika kya Sub Machine Gun-SMG, ey’ebitongole ebikuuma ddembe.

Okunoonyereza kulaga nti emmundu yabbibwa ku Asikaali bwe yali akuuma essundiro ly’amafuta Kyengera.

Wabula wadde abasibe begaanye emisango, bonna baziddwa ku limanda mu kkomera e Kitalya okutuusa nga 5, omwezi ogujja Ogwomwenda, 2022 ate Mbabazi azziddwa Luzira.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=CakqXIbAC5E