Abasuubuzi mu ggwanga erya Kenya, bakyatidde okudda ku mirimu gyabwe nga batya nti embeera eyinza okusajjuka essaawa yonna.
Mu bitundu bye Kisumu, ekisinga okubaamu abawagizi ba Railo Odinga, eyawanguddwa ku bukulembeze bw’eggwanga erya Kenya, abasuubuzi bali mu kutya era amaduuka mangi gakyali maggale.
William Ruto yawangudde obukulembeze bw’eggwanga erya Kenya, nga yasobodde okusinga Odinga obululu 233, 211.

Okuva olunnaku olw’eggulo, Odinga tannavaayo okwogera ku nsonga yonna, ekyongedde okutiisa bannansi ne batya okudda ku mirimu gyabwe.
Tekimanyiddwa oba Odinga, wakuddukira mu kkooti.

Wabula bangi ku basuubuzi abakola emmere ya leero, omuli abatunda ebikajjo, ennanansi, Galagi, bakedde kuddamu kutambuza mirimu gyabwe, okunoonya eky’okulya.
Okusinzira ku byalangiriddwa olunnaku olw’eggulo, Ruto yafunye obululu 7,176,141 nga bukola ebitundu 50.49 ku 100 era yalangiriddwa nga Pulezidenti w’e Kenya Owokutaano (5).
Railo Odinga yakutte kyakubiri ng’afunye obululu 6,942,930 nga bukola ebitundu 48.5 ku 100.
Abalala okuli George Wajackoyah eyali yasuubiza abantu okulima enjaga, yamalidde mu kyakusatu ng’afunye obululu 61, 969 nga bukola obutundutundu 44 ku 100 ate David Mwaure, yakwebedde mu Kyokuna ng’afunye obululu 31, 927 nga bukola obutundutundu 23 ku 100.
Amangu ddala nga Ruto alangiriddwa ng’omukulembeze w’eggwanga Ow’okutaano, yayogeddeko eri eggwanga, wakati mu kusakaanya ng’asinzira ku Bomas ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda.
Ruto agamba nti obuwanguzi bwe, buvudde ku bwerufu obwalagiddwa akakiiko k’ebyokulonda ne ssentebe waako Wafula Chebukati.
Mungeri y’emu agamba nti bannansi okulonda omukulembeze nga tewali kwesigama ku mawanga, nakyo kyongedde okulaga nti ddala bannansi betaaga nkulakulana si mawanga mu nsi yaabwe.
William Ruto yasuubiza Railo Odinga nti wadde awanguddwa, balina okuyambagana ennyo mu kutambuza eggwanga lyabwe era asuubiza okusoosowaza obwerufu mu bukulembeze bwe.
Mu kiseera kino embeera ekyali yakimpowooze nnyo mu ggwanga erya Kenya nga waliwo abagamba nti Odinga alina okuddukira mu kkooti okuwakanya obuwanguzi bwa Ruto.
Poliisi n’amaggye bakyali ku nguudo mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo okwerinda ekiyinza okuddako n’okutangira embeera okusajjuka.
Ruto kati alinze Uhuru Kenyatta kumukwasa buyinza.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=BIZtjdzqs5Y