Obunkenke bweyongedde mu ggwanga erya Kenya, Railo Odinga, bw’agaanye ebyalangiriddwa ku ntebe y’obukulembeze bw’eggwanga eryo.
Okusinzira ku byalangiriddwa ssentebe w’akakiiko k’eby’okulonda Wafula Chebukati akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, William Ruto yawangudde obukulembeze bw’eggwanga erya Kenya nga yafunye obululu 7,176,141 nga bukola ebitundu 50.49 ku 100.

Railo Odinga yamalidde mu kyakubiri ng’afunye obululu 6,942,930 nga bukola ebitundu 48.5 ku 100.
Ruto okuwangula, yasobodde okusinga Odinga obululu 233, 211.
Wabula akawungeezi ka leero, Odinga bw’abadde ayogerako eri eggwanga ng’asinzira ku Kenyatta International Convention Centre mu kibuga Nairobi, agaanye ebyavudde mu kulonda.
Odinga alangiridde okuddukira mu kkooti, okusalawo ku ngeri Chebukati gye yakuttemu ensonga z’ebyokulonda nga tebiri mateeka, ekiyinza okutabangula eggwanga lyonna n’okutaataganya ebyokwerinda.
Railo Odinga eyakavuganya ku bukulembeze bw’eggwanga erya Kenya emirundi 5, ku myaka 77, awanjagidde bannansi, okusigala nga bakakamu nga bewala, okwenyigira mu ngeri zonna, eziyinza okumenya amateeka.
Odinga asuubiza abawagizibe, okweyambisa amateeka okutuusa nga bawangudde nga betaaga amazima n’obwenkanya.
Ate webuzibidde akawungeezi ka leero ng’akakiiko k’ebyokulonda, keyongedde okweyawulamu kwebyo ebyalangiriddwa.
Bakamisona b’akakiiko 4 ng bakulembeddwamu amyuka ssentebe w’akakiiko Juliana Cherera nga basinzira ku Serena Hotel mu kibuga Nairobi, bazzeemu okwegaana ebyalangiriddwa Chebukati, akawungeezi k’olunnaku Olw’eggulo.

Bano, bagamba nti wadde okulonda kwatambula bulungi ddala, gye bigweeredde nga Chebukati afuuse nakyemalira.
Cherera ne banne, bagamba nti ebyalangiriddwa ku ssaawa envanyuma, tebaategedde byavuddewa nga bannansi baddembe okuddukira mu kkooti.
Wadde ebyokwerinda byongedde okunywezebwa mu ggwanga lyonna, bangi ku basuubuzi, bakyatidde okudda ku mirimu gyabwe.

Bano, bagamba nti embeera eyinza okusajjuka nga bangi bakyali waka, amadduuka gakyali maggale.
Wabula byonna ebigenda mu maaso mu ggwanga erya Kenya, omukulembeze w’eggwanga Uhuru Kenyatta tannavaamu wadde ekigambo.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=Q3EqWkM4t4U