Kyaddaki Mr Henry abotodde ekyama lwaki yakoowa abakyala abeyerusa mu bulamu bwe.
Mr Henry, omukozi ku 100.2 Galaxy FM mu Pulogulamu Mid Morning Tukoone, gye buvuddeko yayawukana ne mukyala we Prima Kardashi.
Prima yali mukyala w’omuyimbi Geosteady nga yali yakamuzaalira abaana 2.

Oluvanyuma lwa Prima okufuna obutakaanya ne Geosteady, Mr Henry yayingiramu n’omukwano omuggya era Prima kyamwanguyira okumugabira ebyalo.
Mr Henry yasalawo okwesonyiwa Prima era mu kiseera kino buli omu akola bibye.
Abotodde ebyama!
Ng’omusajja omulala yenna, Mr Henry abaddeko n’abakyala ab’enjawulo mu bulamu bwe.
Wabula abotodde ekyama lwaki kati yakoowa abakyala abeyerusa ennyo.
Mr Henry agamba nti omukyala nga yeyerusa nnyo tawooma.
Mr Henry bwe yabadde ku kivvulu ekimu mu Kampala, ebigambo bye byakyamudde bangi ku badigize nga bagamba nti yabadde alumba Prima wadde yagaanye okwatuukiriza erinnya lye.
VIDIYO!