Aba Kampuni ya Unilever, bavuddeyo okwenyigira mu kampeyini y’okulwanyisa Kkansa mu Uganda, ayongedde okutta abantu.
Aba Unilever, abakola ebintu eby’enjawulo omuli Omo, Ssabuubi, ebizigo, Sanitayiza, ssaako n’ebizigo, ebiyoyoota ensusu, bawaddeyo obukadde 10 okuyambako mu kutekateeka emisinde gya Rotary Cancer Run, 2022.

Emisinde, egitwaliddwa ku kisaawe kye Kololo nga 4, omwezi ogujja Ogwomwenda, 2022, gigendereddwamu okusonda ssente z’okuzimba amalwaliro amalala, okuyambako mu kulwanyisa Kkansa.
Okusinzira ku Joanita Menya Mukasa omulabirizi w’ekitongole kya Unilever, bannayuganda okuvaayo okwegata mu kulwanyisa Kkansa, kye kigenda okuyambako.
Wakati mu kulwanyisa Kkansa mu Uganda, ssentebe w’entekateeka y’emisinde egya Rotary Cancer Run, 2022, Emmy Kwesiga agamba nti okuzimba amalwaliro, kigenda kuyambako, mukendeza omujjuzo ku ddwaaliro ekkulu e Nsambya mu ku lwanyisa Kkansa.
Agamba nti betaaga Biriyoni eziri mu 13, okutuukiriza ekirooto kyabwe era buli omuntu okudduka, alina okusasula ssente 25,000 okufuna akasaati k’okuddukiramu.

Aba Rotary bazze benyigira mu ntekateeka z’okulwanyisa Kkansa mu kuzimba eddwaaliro ekkulu e Nsambya era nga 4, omwezi ogujja Ogwomwenda, bagenda kudduka omulundi gwe 11.