Abatuuze ku kyalo Bwotansimbi e Buloba mu disitulikiti y’e Wakiso, bakyasobeddwa olwa ssemaka, okutta mukyala we ssaako n’abaana ababiri era bonna 3, bazuuliddwa nga y’abeeziikira

Faisal Muwanguzi ali ku limanda mu kkomera ku misango gy’okutulugunya abaana, kizuuliddwa nti yatta mukyala we Muwanguzi Nabukenya Mariam eyali mu gy’obukulu 33 bwe yali amusuubiza okugenda mu nsi z’ebweru, okunoonya ensimbi ku kyeyo.

Omukyala Nabukenya yattibwa n’abaana beyeezaalira, Muwanguzi Mukisa myaka 2 ne Muwanguzi Ngabo myezi 3 era bonna bazuuliddwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu, nga baziikibwa mu kinnya emanju w’ennyumba.

Okunoonyereza, kulaga nti abantu abo, battibwa wakati wa Janwali n’Ogwokutaano, guno omwaka 2022.

Nga banoonya emirambo

Dan Kiwanuka, ssentebe w’ekyalo Bwotansimbi agamba nti kyewunyisa Muwanguzi ali mu kkomera ku misango gy’okutulugunya abaana ate okuzuula nti yatta mukyala we Nabukenya n’abaana.

Ssentebe Kiwanuka agamba nti Muwanguzi okwenyigira mu kutta, kabonero akalaga nti ddala abadde muntu mukyamu nnyo ku kitundu kyabwe, kwe kusaba abatuuze n’okusingira ddala abasajja, okweyambisa abakulembeze ku byalo ne Poliisi singa bafuna obuzibu bwonna mu famire okusinga okutwalira amateeka mu ngalo okutta abantu.

Eddoboozi lya Kiwanuka

Ate Joanita Mukalazi, akulira ensonga z’amaka n’abaana mu disitulikiti y’e Wakiso, agamba nti Muwanguzi yakwatibwa bwe yali asukkiridde okutulugunya abaana abato abalenzi omuli okubakuba buli lunnaku nga n’abatuuze bakooye.

Mukalazi agamba nti oluvanyuma lw’okutegeeza ku Poliisi y’e Wakiso ne Buloba, Muwanguzi yakwatibwa era abadde ku limanda ku misango gy’okutulugunya abaana beyeezaalira babiri (2).

Emirambo gizuuliddwa

Wabula omu ku baana omulenzi ali mu myaka 16, yasobodde okutegeeza Mukalazi ne banne nti kitaawe ayinza okuba yatta nnyabwe ne batoobe babiri (2).

Omwana agamba nti kitaawe Muwanguzi yabalagira okusima ekinnya emanju w’ennyumba nga kiteeberezebwa nnyabwe yamutta era namuziika kuba yalina pulaani okugenda ku kyeyo wabula tebaddangamu kumulabako.

Mukalazi yasobodde okutemya ku Poliisi ssaako n’abakulembeze ku kyalo era okusima ekinnya nga kituufu omukyala Nabukenya yattibwa n’abaana.

Eddoboozi lya Mukalazi

Luke Oweisigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti emirambo, gyasindikiddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okwekebejjebwa.

Oweisigyire agamba nti wadde Muwanguzi ali ku limanda ku misango gy’okutulugunya abaana, ayongeddwako emisango gy’okutta abantu.