Eggwanga liguddemu ekiyongobero enkya ya leero, eyali Minisita w’ensonga z’ebyokwerinda Gen. Elly Tumwine, bw’afiiridde mu ggwanga erya Kenya.

Gen. Tumwine afiiridde mu kibuga Nairobi mu ddwaaliro lya Aga Khan gye yatwalibwa ng’ali mu mbeera mbi.

Yazaalibwa 12, Ogwokuna, 1954 ku kyalo Burunga mu disitulikiti y’e Mbarara era afiiridde ku myaka 68.

Yasomera ku Burunga Primary School, Mbarara High School ne St. Henry’s College Kitovu, oluvanyuma, yegatta ku Yunivasite e Makerere mu 1977, gye yafunira diguli mu kuba ebifaananyi ssaako ne Dipulooma mu busomesa.

Gen. Elly kati mugenzi

Yalondebwa ssentebe w’ekibiina ki NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni nga Minisita w’ensonga z’ebyokwerinda mu Gwokusatu, 2018 – 2021.

Gen. Tumwine y’omu ku bannamaggye abayingira ensiko ng’abayeekera era abenyigira mu kulumba ekitebe ky’amaggye e Kabamba era kigambibwa yeyafulumya essasi eryasooka, mu lutalo olwamala emyaka 5.

Mu 1984 yalondebwa ng’omuduumizi w’amaggye okutuusa mu 1987, nasikizibwa General Salim Saleh.

Mu 1989, Gen. Tumwine yalondebwa nga Minisita omubeezi ku nsonga z’ebyokwerinda era aweereza mu bukulembeze obw’enjawulo omuli n’okukiikirira amaggye mu Palamenti y’eggwanga.

Mu 2005, yalinyisibwa amadaala okudda ku ddala lye General mu kitongole ky’amaggye era amangu ddala yalondebwa nga ssentebe wa kkooti y’amaggye.

Mu kiseera nga ye ssentebe wa kkooti y’amaggye, yaliko misango gya munna FDC Dr Col Kizza Besigye egy’okulya mu nsi olukwe.

Wabula nga 16, Ogwokutaano, guno omwaka 2022, Gen. Tumwine y’omu ku bannamaggye 34 abawumula emirimu gyabwe mu kitongole ky’amaggye.

Obulwadde!

Kigambibwa Gen. Tumwine abadde atawanyizibwa ebirwadde ebyekuusa ku Kkansa nga n’okumutwala mu ggwanga erya Kenya, obulamu bwali bweyongedde okunafuwa.

Gen. Tumwine abadde musajja ayagala eggwanga lye era abadde yakoowa, omuntu yenna ayinza okutabangula emirembe.

Mu kulonda okuwedde ogwa 2021, oluvanyuma lw’embeera okutabanguka mu Kampala ssaako n’ebintu ebirala, nga kivudde ku bitongole ebikuuma ddembe, okusiba Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) mu bitundu bye Luuka, abantu abasukka 30 battibwa, nga bakubwa amasasi, ebitongole ebikuuma ddembe.

Wabula Gen. Tumwine, eyali Minisita w’ebyokwerinda mu kiseera ekyo, yategeeza nga Poliisi bw’erina obuyinza okuba okutta omuntu yenna singa agezaako okutabangula embeera.

Ebigambo bye eri Poliisi

Gen. Tumwine bwe yali awaayo offiisi eri Maj. Gen Jim Muhwezi nga Minisita w’ensonga z’ebyokwerinda nga 24, Ogwomukaaga, 2021, yalabula omukulembheze w’eggwanga lino Yoweri Museveni okulowooza ku nsonga y’okukyusa obuyinza mirembe.

Gen. Tumwine yasaba Pulezidenti Museveni akkirize okuwaayo obuyinza okusinga okulinda okutabangula eggwanga, abamu kyebategeeza nti yali anyiize olw’okumugyako obwa Minisita.

Amagezi eri Pulezidenti Museveni

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=xBIRjhvh1qo