Ekitongole kya MTN Uganda Foundation ekivunaanyizibwa ku misinde gya MTN Kampala Marathon nga kiri wamu ne Minisitule y’ebyobulamu ssaako n’ekitongole kya United Nations Population Fund (UNFPA), kyaddaki bawaddeyo eddwaaliro lya Kalangala HC IV oluvanyuma lw’okuliddabiriza era basobodde okulongoosa ekifo abakyala mwe bazaalira ssaako n’okuwaayo ebyuma ebiyinza okuyambako mu mbeera z’okuzaala.

Emisinde gya MTN giddukibwa buli mwaka nga gibaddewo emyaka kati 16 era ssente ezivaamu, zikoze ku bintu eby’enjawulo omuli okutwala amazzi amayonjo mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo ebiri mu mbeera mbi, okulongoosa amalwaliro, amassomero ssaako n’ebintu ebirala, ebiyamba mu bulamu bwa buligyo.

Mu myaka esatu egiyise, MTN etadde nnyo essira mu kuyambako Gavumenti kutumbula eby’obulamu omuli eby’okuzaala n’obulamu bw’abaana abato.

MTN Uganda mu kuyambako okulongoosa embeera z’abantu, esobodde okusasaanya obukadde bwa ssente 216 mu kuddabiriza ekifo ky’abakyala gye bazaalira, abakyala gye babalongozesa n’ebintu byonna ebiyambako omukyala okuzaala obulungi.

Ekifaananyi wakati mu ssanyu

Disitulikiti y’e Kalangala erina ebizinga 84 ssaako n’abantu bangi ddala ate bangi ku baana abawala bazadde ku myaka emito.

Okuddabiriza Kalangala HC IV, kigenda kuyamba nnyo okutuusa obuweereza obulungi eri abatuuze mu kitundu ekyo.

Mu kuwaayo eddwaaliro eri abakulu, akulira mu MTN Uganda ne massekati ga Uganda Patrick Tusiime, agamba nti okuddabiriza eddwaaliro lya Kalangala HC IV, kigenda kuyamba nnyo abakyala okuzaala nga tebalina kutya kwonna kuba buli kimu ekyataagisa omukyala omuzaala obulungi, kiteekeddwa mu ddwaaliro.

Ate omugenyi omukulu Richard Mugahi, amyuka kamisona ku nsonga z’okuzaala obulungi n’obulamu bw’abaana mu Minisitule y’ebyobulamu atendereza MTN Uganda olw’omutima omugabi n’okuyambako Gavumenti mu kutumbula eby’obulamu.

Mugahi agamba nti olwa Kampuni nga MTN okuvaayo okuyambako mu kutambula ebyobulamu, kisobodde okuyambako okukendeza omuwendo gw’abakyala abafa mu lutalo lw’okuzaala.

Amalwaliro amalala agayambiddwako MTN Uganda kuliko Kawempe National Referral hospital nga yeteekebwamu ssente obukadde obusukka mu 400.

Amalwaliro amalala kuliko Muyembe HC IV mu disitulikiti y’e Bulambuli, Pakwach HC IV mu disitulikiti y’e Pakwach, Karugutu HC IV mu disitulikiti y’e Ntoroko kati n’eddwaaliro lye Kalangala HC IV mu disitulikiti y’e Kalangala.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=iQ9MhTx0oDc