Poliisi mu bitundu bya Albertine, Hoima ne Kikuube bakutte maama ku misango gy’okutta abantu be basatu okuli myaka 5, 3 n’emyezi 11.

Maama akwatiddwa ye Agaba Omuhereza myaka 33 nga mutuuze mu disitulikiti y’e Kibaale.

Nga 20 August 2022, Omuhereza yatambudde okudda mu maka ga bazadde ku kyalo Kiziga mu ggoombolola y’e Buhimba mu disitulikiti y’e Kikuube okufuna obujanjabi era kigambibwa abadde mulwadde wa mutwe.

Omuhereza yabadde mu maka ga kitaawe okutuusa nga 24, August, 2022 kyokka oluvanyuma yavudde awaka wa kitaawe okugenda mu nnyumba ya muganda we Kasangaki Omuhereza.

Nga 25, August, 2022, maama Omuhereza yakutte ejjambiya kwe kutematema abaana bonna basatu (3) era omwana Ahumuza Praise yafiiriddewo.

Abaana abalala okuli Wemigisha Faith myaka 3 ne Tumukugise Peace myezi 11 bafiiridde mu ddwaaliro ekkulu e Hoima.

Maama oluvanyuma lw’okutta abaana bonna, yakwatiddwa kitaawe, kwe kutwalibwa ku kitebe kya Poliisi e Hoima.

Mu kwekebejja ekifo, Poliisi yazudde ejjambiya ssaako n’okusindika emirambo mu ddwaaliro okwekebejjebwa.

Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba nti mu kwekebejja maama, kizuuliddwa nti ategeera bulungi ddala ate waliwo amawulire agalaga nti abadde mulwadde wa mutwe.

Enanga agamba nti okwekebejja maama, kukyagenda mu maaso.

Wakati mu kunoonyereza, Poliisi ewanjagidde abakulembeze ku byalo ne Famire, okweyambisa Poliisi mu bitundu byabwe singa bazuula omuntu yenna ng’alina obuzibu ku mutwe.

Mungeri y’emu Poliisi y’e Nansana ne Kawempe bakutte abasajja babiri (2) abaludde nga beyambisa Pikipiki okubba abatuuze nga bakuba abantu obutayimbwa, bulooka mu bitundu bye Nabweru.
Abakwate kuliko Lujja Jonathan nga mutuuze we Kyebando – Kabulengwa ne Kato James nga mutuuze we Kawempe Ku taano.
Enanga agamba nti abakwate bazuuliddwa nga balina Peeva nga bali ku Pikipiki namba UFQ 445L ekika kya Bajaj Boxer.
Omubbi omulala ategerekeseeko erya Mande nga mutuuze we Naluvule myu disitulikiti y’e Wakiso yadduse era mu kiseera kino Poliisi emunoonya ku misango gy’obubbi.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=swbD5hycS4Q