Wakati mu kikolwa….

Poliisi ekyanoonyereza ku bakyala abakwatiddwa abasamba ogw’ensimbi ku misango gy’okutta omusajja Kasitoma, oluvanyuma lw’okusinda omukwano.

Okunoonyereza, kulaga nti sabiiti ewedde ku Mmande nga 19, omwezi guno Ogwomwenda, 2022 mu katawuni k’e Wantoni mu Monicipaali y’e Mukono, abakyala abasamba ogw’ensimbi 11 ne Manejja w’ekifo ekya Recess Bar and lodges Abdu Kiggundu baakwatibwa ku misango gy’okutta omusajja.

Okusinzira ku ssentebe w’ekyalo Ggulu Ward, Muhammad Takwana, omusajja yattibwa oluvanyuma lw’okusinda omukwano kyokka ne balemwa okukaanya ku ssente.

Ssentebe Takwana  agamba nti omu ku bakyala, yakkiriza ssente 5,000 okwesa empiki okumala eddakika 30 kyokka omusajja bwe yawaayo ssente 10,000 nga balina okumuddiza Balaansi 5,000, omukyala yazigaanira.

Wakati mu kuwanyisiganya ebigambo, omusajja yanyakula essimu y’omukyala era bwe yali agitwala, omukyala yakuba enduulu ng’omusajja bwe yeenyigidde mu kubba essimu ye, ekyaleeta bakyala banne abasamba ogw’ensimbi ne bamukuba era Poliisi yageenda okutuuka ng’omusajja amaze okufa.

Mu kikwekweeto, Poliisi yakwata abakyala ab’enjawulo abaludde nga benyigira mu kusamba ogw’ensimbi wabula okuva sabiiti ewedde, abakyala 6 bakyali mu kaduukulu ka Poliisi.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, omusajja eyattibwa tamanyikiddwa nga teyasangibwa na kiwandiiko kyonna.

Onyango agamba nti abakwate bali ku misango gya butemu nga singa bayimbulwa, bayinza okutaataganya okunoonyereza ate nga bakyalinze n’alipoota y’abasawo mu ddwaaliro ekkulu e Mulago ku nfa y’omusajja.

Abamu Poliisi yabakwata wakati mu kikolwa nga bakuba omusajja.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=Bzv_ZGbThRQ