Kyaddaki omuyimbi Gravity Omutujju ayongedde okulaga nti ddala alina ekifo ky’okumwanjo mu kisaawe ky’okuyimba.

Gravity agamba nti mu Uganda ye nnamba 4 mu kisaawe ky’okuyimba.

Agamba nti wadde mu Uganda mulimu abayimbi bangi ddala, mu Uganda y’omu ku bayimbi abakwatiridde ekisaawe ky’okuyimba.

Omutujju

Gravity bw’abadde asaba bannayuganda okuggya okuwagira Eddy Kenzo mu kivvulu ‘Eddy Kenzo Festival’ nga 12, November, 2022, agamba nti Kenzo okutegeka ‘Festival’ ayongedde okulaga nti ddala ye namba emu (1) wa Uganda.

Gravity agamba nti ennyimba ze omuli Winner, Balance the Boat, Malangaja, Olimba, Ayi Ayi, Tusimbudde n’endala, y’emu ku nsonga lwaki tewali kubusabuusa kwonna ye namba 4 wa Uganda mu by’okuyimba.

Uganda wadde erina abayimbi bangi nnyo, Kenzo ye muyimbi yekka alina BET ate ye muyimbi asinga okwagalwa mu nsi z’ebweru olw’ennyimba ze omuli Sitya Loss olwa 2014, Tweyagale 2020, Nsimbudde 2022, Viva Africa 2020, Weekend 2021 n’endala.

Kenzo

Mu Uganda, Kenzo ye muyimbi asoose okutegeka ‘Festival’ era kigambibwa okutambula mu nsi z’ebweru, y’emu ku nsonga lwaki asobodde okuleeta ekipya mu Uganda.

Ekivvulu ‘Eddy Kenzo Festival’ kitwaliddwa ku kisaawe e Kololo era okuyingira ssente 20,000, 50,000, obukadde 3 ate emmeeza obukadde 5.

Ebigambo bya Gravity Omutujju

Eddoboozi lya Gravity Omutujju