Kyaddaki Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine)n avuddemu omwasi era abotodde ebyama lwaki yagaana okwetaba ku kivvulu kya Dr. Jose Chameleone ekya Gwanga Mujje.
Mu Febwali, 24, 2023, Chameleone yali ekivvulu ku Lugogo Cricket Oval era kyetabwamu abantu bangi nnyo okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.
Mu kivvulu, abayimbi bangi bavaayo okuwagira Chameleone omuli ne Bebe Cool.
Mu kusooka siteegi yagwa nga 10, Febwali, 2023, nga kivudde ku namutikwa w’enkuba.
Bangi ku bawagizi ba Chameleone baali balowooza nti Bobi Wine, y’omu ku bayimbi abalina okuggya okuwagira omuntu waabwe.
Bobi Wine ayogedde!
Bobi Wine bwe yabadde ku TV, yawadde ensonga ze lwaki yagaana okugenda ku kivvulu kya Chameleone.
Bobi Wine agamba nti amaze ebbanga erisukka mu myaka 5 nga takkirizibwa kuyimba olw’okuvuganya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku bwa Pulezidenti kyokka Bebe Cool ne Chameleone teri yali avuddeyo okuvumirira ekikolwa ekyo.
Agamba nti wadde ali mu byabufuzi, musajja muyimbi nga kiswaza Gavumenti okumulemesa okuyimba.
Bobi Wine agamba nti Chameleone ne Bebe mikwano gye era ye tabalinako buzibu bwonna.
Lwaki yagaanibwa!
Pulezidenti Museveni yavaayo dda ku nsonga y’okulemesa Bobi Wine okudda ku siteegi okuyimba.
Pulezidenti agamba nti abantu balina okukomya okweyambisa siteegi mu bivvulu, okudda mu kampeyini ng’ekiseera tekinatuuka.
Bwe yali ayogerako eri eggwanga, yategeeza nti Bobi Wine yali asukkiridde okweyambisa ebivvulu, okudda mu kampeyini, ekintu ekimenya amateeka.
Ng’omukulembeze w’eggwanga, yasaba Bobi okusalawo okuyimba n’ebyobufuzi.
Ddala yakomyewo!
Bobi Wine kati alina akayimba akapya, akali mu kutambula ku laadiyo, TV n’emikutu migatta abantu.
Akayimba Nalumansi, yakafulumya kati ennaku 10 era ku U-tube kakola bulungi ddala nga kali mu bantu 400,000.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=d_YHpnqSRUU