Poliisi mu ggwanga lya Zambia ekutte omukyala w’eyali Pulezidenti Edgar Lungu ku misango 3 omuli okwenyigira mu kubba emmotoka.
Esther Lungu ali mu kaduukulu ka Poliisi mu kibuga Lusaka ne banne basatu (3).
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga lya Zambia Danny Mwale, abakwate era bali ku misango gy’okubba ebyapa by’ettaka mu bifo eby’enjawulo mu kibuga Lusaka.
Mu ngeri y’emu bali ku misango gy’okusangibwa n’ebintu bya Gavumenti mu ngeri emenya amateeka.

Mu kiseera kino, bangi ku Baminisita, abali abakozi mu Gavumenti n’abamu ku bantu mu famire ya Lungu, bali ku banoonyerezaako ku misango egy’enjawulo mu ggwanga lya Zambia.
Kigambibwa bangi benyigira mu kubba ebintu eby’enjawulo omuli ssente, okwenyigira mu kutta abantu, okutyoboola eddembe ly’obuntu, okwenyigira mu kulya enguzi n’emisango emirala.
Edgar Chagwa Lungu yazaalibwa nga 11, November, 1956 era yali Pulezidenti wa Zambia namba 6 okuva 26, January 2015 okutuusa 24, August 2021.
Mu kulembe gwa Pulezidenti Michael Sata, Lungu yali Minisita w’amateeka n’ensonga z’ebyokwerinda.
Oluvanyuma lwa Sata okufa mu October, 2014, Lungu yalondebwa okulemberamu ekibiina ki Patriotic Front.

Mu kulonda kwa January 2015, okunoonya ayinza okumalako ekisanja kya Sata, Lungu yasobola okuwangula Hakainde Hichilema eyali akulembera oludda oluvuganya era yakwata obuyinza nga 25, January 2015.
Mu kulonda kwa August, 2016, yaddamu okuwangula Hichilema ku bwa Pulezidenti era yalayizibwa nga 13 September 2016.
Mu 2021, Hichilema yawangula Lungu ku bwa Pulezidenti.
Nga 3, May, 2023, Poliisi yalumba amaka ga Lungu okwekebejjebwa mu kibuga Lusaka ku misango egivunaanibwa omukyala Esther Lungu egy’okuba n’emmotoka enzibe ssako n’ebyapa.
Lungu yawasa Esther Lungu mu 1986, balina abaana 6 okuli ne Tasila Lungu, omubaka wa Palamenti nga yalondebwa mu 2021.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=8zJlSnxEKew