Ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni abikudde ekyama nti abantu okuzimuula, amagezi ge, y’emu ku nsonga lwaki bangi ku bannayuganda bakyalemeddwa okulwanyisa obwavu.

Museveni agamba nti aludde ng’asomesa abantu okujjumbira ebyobulimi, okutunda ebirimiddwa okufuna ensimbi kyoka abantu bangi bakyalima mmere yakulya tebafissaako yakutunda.

Ebyo okubyogera, yabadde ayogerako eri abatuuze b’e Mityana North mu kutongoza kampeyini etuumiddwa “Kisoboka” egendereddwamu okukyusa embeera z’abantu nga benyigira mu mbeera yonna, okulwanyisa obwavu.

Ate Minisita omubeezi ow’ebyobulambuzi Godfrey Kiwanda Suubi ate nga mubaka wa Paalamenti e Mityana North alopedde Pulezidenti Museveni nti abantu okwetya, okwenyoma n’okuzimula entekateeka za Gavumenti, kibasibidde emabega.