Abasirikale mu bitongole ebikuuma ddembe, bakedde kunyweza byakwerinda mu Lubiri Mmenge, okutangira omuntu yenna ayinza okutaataganya emikolo gya Jubireewo.
Kinnajjukirwa nti 1993, essannyu lwabugaana Obuganda olwa Ssaabasajja Kabaka Ronald Edward Frederick Kimera Muwenda Mutebi II, okutuzibwa ku Namulondo, ku mukolo ogwali ku kasozi e Naggalabi, Buddo nga enkya ya leero, giweza emyaka 25 bweddu.
Omukolo gwetabwako, abantu bangi omuli n’abakungu mu Gavumenti ya wakati, abagenyi abayite okuva ebweru w’eggwanga era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ne mukyala we Janet Museveni nabo baagwetabako.
Omukolo gwetabwaako Bannaddiini okuva mu nzikiriza ez’enjawulo era okusaba, kwakulemberwamu omugenzi Omusumba Adrian Ddungu ng’ayambibwako omugenzi Misayiri Kauma, eyakola omukolo, gw’okwambaza Kabaka engule.
Enkya ya leero, abasirikale abasuuka mu 3,000, bakedde okwekeneenya ebyokwerinda era abatekateeka okukola efujjo, balabuddwa adduumira Poliisi mu Kampala n emirirwano Moses Kafeero okusigala awaka kuba Poliisi tegenda kubataliza.