Omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Jane Frances Abodo alangiridde ku Lwokutaano nga 3rd, August, 2018, okuwa ensala ye kukusaba okwatwalibwayo omuvubuka Brian Isiko myaka 25 ng’asaba okweyimirirwa.
Isiko yateekayo okusaba okweyimirirwa era nawakanya ekibonerezo ekyamuwebwa omulamuzi wa Buganda Road Gladys Kamasanyu eky’okusibwa emyaka ebiri olw’okukwana omubaka omukyala ow’e Kabarole Sylivia Rwabwogo.
Isiko muyizi ku YMCA ettabi lye Jinja era okusindikibwa mu kkomera e Luzira, kigambibwa nti aludde ng’asindikira omubaka Rwabogo myaka 42, obugambo obusomooza nga bwali omukyala omulungi, gweyegomba nga singa amukiriza, yetegese okumwagala nnyo.

Wabula mu kusaba okweyimirirwa, Isiko yategeza nti okusibwa, kigenda kutataaganya okusoma kwe ate n’okwepikira omubaka Rwabogo mu kaboozi kityoboola kitiibwa wadde okukuma mu bantu omuliro.
Mu kkooti, Isiko aleese abamweyimirira babiri (2) okuli Munnamagye eyaganyuka Grace Regan Muganza ne Wako Godfrey amyuka akulira ebyenjigiriza ku yunivaasite y’e Kyambogo.
Munnamateeka wa Isiko, Ramadhan Waiswa asabye kkooti omuntu we okweyimirirwa nga tasabiddwa ssente yonna.
Wabula oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Nyanzi Gladys naye asabye omulamuzi obutagezaako wadde kuyimbula Isiko kuba alemeddwa okuleeta jjajja we Alice Matende mu kkooti, okakasa nti babeera bombi.
Mungeri y’emu Gladys agambye nti Isiko alemeddwa okuleeta ekiwandiiko kyona mu kkooti wadde endagamuntu okumatiza nti muyizi ku YMCA.
Ebyo byonna omulamuzi, kwasinzidde okulangirira ku Lwokutaano nga 3, August, 2018 okuwa ensala ye.