Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Ngerwe mu ggombolola ye Embu mu ggwanga erya Kenya, ssemaka, atemera mu gy’obukulu 60, bwakutte makansi ne yeesalako obusajja.

Dominic Mugo abadde mulimi era batuuze bawulidde miranga olunnaku olw’eggulo ku Mmande era bageenze okutuuka mu nnyumba ng’ali mu kitaba ky’omusaayi, akutte makansi mu ngalo ng’ebitundu by’ekyama bigudde ebbali.

Abatuuze, bamututte mu ddwaaliro kyokka n’afa nga bakamutusaayo.

Wabula akulira Poliisi mu kitundu ekyo, Jeremiah Tumo agambye nti omubiri gw’omugenzi gwasangiddwamu ebiragalaragala omuli enjaga ekiraga nti waaya zabadde zivuddeko.