Kyayitiridde mu Lubiri e Mengo ku matikkira ga Kabaka Ronald Edward Frederick Kimera Muwenda Mutebi II ag’emyaka 25 olunnaku olw’eggulo ku Mande nga 31, July, 2018.
Omukolo gwasombodde abantu bangi ddala omuli ababaka ba Paalamenti, baminisita, abakulembeze b’ennono, abagenyi okuva ebweru w’eggwanga, nasisi w’omuntu wakati mu byokwerinda.
Ate Otumfuo Nana Osei Tutu II omu ku bakulembeze ab’ennono abasinga amaanyi mu Afrika era y’atwala Obwakabaka bwa Asante okuva mu ggwanga erya Ghana yeyabadde omugenyi omukulu eyayitiddwa Kabaka.

















