Akakiiko k’ebyokulonda mu ggwanga erya Zimbabwe mu kiro ekikeseza olwa leero, kalangiridde Emmerson Mnangagwa ku bukulembeze bw’eggwanga lyo.

Mnangagwa okuva mu kibiina kya Zanu-PF awangudde n’ebitundu 50.8 ku 100 ate munne, eyakutte kaadi y’oludda oluvuganya Nelson Chamisa afunye ebitundu 44.3 ku 100.

Wabula amangu ddala nga Mnangagwa alangiriddwa, ebitongole ebikuuma eddembe, bivuddeyo okusindikiriza abawagizi ba Chamisa okuva ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda mu kibuga Harare, okutangira ebiyinza okudirira omuli okwekalakaasa.

Abawagizi ba Mnangagwa
Abawagizi ba Mnangagwa

Munangagwa yebaziza bannansi ba Zimbabwe okumwesiga okulembera eggwanga lya Zimbabwe era asabye okwegata awamu, okulwanyisa enjawukana n’okulakulanya eggwanga lyabwe.

Wabula Chamisa agambye nti agenda mu kkooti okujjulira okuwakanya ebirangiriddwa akakiiko k’ebyokulonda.

Mu butongole Mnangagwa yazze mu bigere bya Robert Gabriel Mugabe myaka 94 eyagobwa amaggye mu buyinza omwaka oguwedde ogwa 2017.

Okwekalakaasa okwabadde mu ggwanga eryo mu kiseera ng’akakiiko k’ebyokulonda tekanaba kulangirira muwanguzi, abantu 6 battiddwa ate bangi bakwattiddwa.