Minisita w’ebyamawulire n’okulung’amya eggwanga Dr. Chris Baryomunsi akyamudde bannakibiina ki National Resistance Movement (NRM) olw’enzina ye.
Minisita Baryomunsi, y’omu ku bali ne Pulezidenti Yoweri Museveni mu bitundu bye Bundibugyo okulambula engeri ssente za PDM gyezisobodde okukyusa obulamu bw’abantu.
Wabula ng’omuntu omulala yenna, ne Minisita Baryomunsi, y’omu ku bantu abanyumirwa omuziki.

Okusinzira ku vidiyo eri mu kutambula, Minisita Baryomunsi asobodde okulaga nti wadde yasoma busawo, ategeera okulya obulamu.
Wabula enzina ya Minisita ekyamudde bangi ku bakyala ssaako n’abasajja nga bewunya engeri gy’akuba omuziki.
Vidiyo
Bingi ebiri mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=7s