Abatuuze ku kyalo Byafula mu ggoombolola y’e Nakisunga mu disitulikiti y’e Mukono, bawanjagidde Poliisi okunoonyereza ennyo, ku kyasindikiriza abatemu, okusalako omusajja omutwe.
Kigambibwa Kagombe Sam, yasobodde okupangisa abatemu okuli Musoke Ben, okutta omusajja ategerekeseeko erya Steven, olw’okusigula mukyala we, Kyomuhendo.
Abatuuze bagamba nti Kyomuhendo ng’omukyala alina abasajja ab’enjawulo nga buli musajja alina ku ssente, afuna omukisa okufuna omukwano.
Abatuuze bagamba nti Kyomuhendo, azze afuna abasajja ab’enjawulo mu bbaala, ekimufudde omukyala ow’enjawulo mu kusanyusa abasajja.
Kati amawulire galaga nti Steven abadde ayagala Kyomuhendo ne Kagombe nga y’emu ku nsonga lwaki Kagombe yasobodde okupangisa abatemu.
Abatemu baasobodde okweyambisa ekiso, okusalako Steven obulago.
Wabula Poliisi bwe yaleese embwa yaayo ekonga olusu, yasobodde okulondoola okutuusa Kagombe lwakwatiddwa ne Musoke Ben nga bekwese mu nsiko.
Ate Kyomuhendo yasangiddwa mu bbaala era naye yatwaliddwa Poliisi okuyambako mu kunoonyereza.
Mu kiseera kino, abatuuze basabye Poliisi okunoonyereza ennyo okuzuula abatemu bonna, abenyigidde mu kutta Steven – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A