Ab’ekitongole ki National Identification and Registration Authority (NIRA) kirabudde ku bulimba, obweyongedde okweyoleka, eri abantu abagenda okwewandiisa okufuna Ndagamuntu ssaako n’okuzza obuggya.
Alipoota eraga nti bangi ku bantu, begumbulidde okulimba – emyaka
- eggwanga
- Okulaga nti bafumbo
Nga byonna bikolebwa, okubaako kye bakweka.
Okusinzira kw’akulira ebya ndagamuntu mu NIRA Claire Ollama, waliwo n’abo, abalowooza nti basobola okukyusa ebyali ku ndaga muntu enkadde, era nga bayita mu kuwaayo eby’obulimba.
Mu kiseera kino okusaba kw’abantu abawerera ddala 10,518 mu kuzza obuggya endagamuntu zabwe kuganiddwa ‘systems’ za NIRA lw’abantu abo okuwaayo ebitakwatagana nga n’ebimu bya bulimba.
Okuva nga 27, May, 2025, NIRA yakawandiisa abantu abasukka mu 2.5M.
Wakati mu kuwandiisa, bangi bazze bemulugunya ku nsonga y’enguzzi esukkiridde wakati wa shs 5,000 – 10,000, okuyitawo okuwandiisibwa.
Wabula Ollama, azzeemu okulabula bannayuganda ku nsonga y’enguzi.
Agamba nti okuwandiisa kwonna kwa bwereere okugyako abantu bokka, abalina kyebaagala okukyuusa ku ndagamuntu omuli emyaka.
Ollama abadde wali ku kitebe kya Poliisi e Naguru – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=20s