Omulamuzi Ronald Kayizzi alangiridde okuwa ensala ye ku Mmande nga 30, June, 2025 ku ssawa 3 ez’okumakya ku misango gya mbega wa Poliisi Charles Twine.
Mbega Charles Twine, ali ku misango ne Mitala Noah, amanyikiddwa nga Noah Mutwe, munnakibiina ki NUP, mutemi wa nnyama nga mutuuze we Kavule-Semuto, Matuga mu disitulikiti y’e Wakiso.
Nga 22, May, 2025, mu maaso g’omulamuzi Ronald Kayizzi, Twine ne Noah Mutwe bagulwako emisango 8 nga
Kigambibwa
– Wakati wa January, 2024 – May, 2025, Twiine Charles ng’ali mu Kampala ku mikutu migatta abantu, yakuma omuliro mu Noah Mutwe, okulumba okutta Pulezidenti wa Uganda ng’akozesa Peeva n’omuduumizi w’amaggye Gen. Muhoozi Kainerugaba.
– Okutambuza ebigambo by’obukyayi nti sipiika wa Palamenti Anita Among, yakulemberamu okutta abantu e Bukedea era mbu “Rotten Human Being”.
– Okukozesa obubbi kompyuta ng’ayita ku mikutu mugatta bantu, okutegeeza nti amyuka sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa, musajja mufere, yeenyigira mu kutambuza ssente mu ngeri emenya amateeka.
– Ebigambo ebisiga obukyaayi, era mu kaseera kekamu, yasobola okweyambisa emikutu migatta bantu, okutegeeza nti Gen. Muhoozi, ‘kabizzi kasava’, ekintu ekiweebula ekitiibwa kye ng’omuntu.
Mungeri y’emu yategeeza nti Gen Birungi James, musajja mutemu ate muzzi wa misango.
Mu kaseera kekamu, yawandiika ne Abahima, batemu, ekintu ekiyinza okuvaako okutuusa obulabe ku Bahima.
– Omusango omulala Noah Mutwe ne Charles Twine nti bekobaana mu kuzza emisango.
Olunnaku olwaleero, omuwaabi wa Gavumenti Richard Birivumbuka asobodde okujja kyokka akubye ebituli mu bantu abaleteddwa okweyimirira abasibe.
Abantu abaleteddwa kuliko Mugisha James, Kabagenyi Keeti n’abalala
Birivumbuka agamba nti abamu ku baleeteddwa, balemeddwa okulaga nti kale balina amaka, gye bayinza okusangibwa.
Kati State egamba nti balemeddwa okuleeta ebiwandiiko ebyetaagisa Wakati nga bali mu kulya obudde, Omulamuzi asuubiza okuwa ensale ye ku Mmande ku ssaawa 3 ez’okumakya era Twine ne Noah Mutwe, bazziddwa ku limanda mu kkomera e Luzira – https://www.youtube.com/watch?v=F8LPleFqdJg&t=320s