Omusomesa w’e Kabale, Junior Tukwasibwe, awanjagidde kkooti enkulu mu Kampala ewozesa bakalintalo, okumusiba ebbanga esamusaamu ng’alina famire gy’alina okulabirira ssaako ne nnyina, akuze myaka.

Tukwasibwe ali ku misango gy’okukabasanya abaana 6 wakati w’emyaka 14 – 17 nga yakikola wakati w’omwaka 2013 – 2018 nga n’ekitongole ki Educate a Child Street Children Uganda e Kabale, kyaliwo mu ngeri emenya amateeka.

Omusomesa oyo, yali yasukkiridde okuwa abaana empeke zekizaala ggumba, ezibatangira okufuna embutto wakati nga abasobyako n’okubatisatiisa.

Tukwasibwe agamba nti emyaka 6 n’emyezi 3 gyamaze ku limanda mu kkomera e Luzira, asobodde okuyiga ebintu eby’enjawulo omuli n’okukyuka ng’omuntu.

Wabula oludda oluwaabi nga lukulemberwa Joseph Kyomuhendo lugamba nti omusomesa nga Tukwasibwe, tagwanidde kudda mu bantu ng’alina kusibwa mayisa n’okuba eky’okuyiga eri abantu abalala.

Omusomesa Tukwasibwe, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, yazziddwa ku limanda okutuusa ku Lwokutaano nga 27, June, 2025 Omulamuzi Richard Wejuli okulangirira ekibonerezo kye – https://www.youtube.com/watch?v=4IjJyDLw9aU&t=30s