Owa UPDF asse omu ku babbi, abakedde okulumba okubba owa ‘Mobile Money’ e Kitintale okumpi ne Access Building.

Ababbi, balumbye ‘Agent’ Ssebanenya Ibrahim ne Kyeyune Rashid nga bakutte emmundu, okwagala okubba ssente okuzitwala.

Ababbi, wakati mu kuteeka ssente mu nsawo zaabwe Ssebanenya ne Kyeyune basobodde okudduka era wakati mu kuba enduulu, okuyita abatuuze ssaako n’okubira Poliisi y’e Kitintale essimu, okuleeta obuyambi.

Ababbi, basobodde okudduka nga badda mu bitundu bye Bugolobi.

Poliisi esobodde okwanguwa era wakati mu kuwondera ababbi, Matovu Farouk akwatiddwa Poliisi y’e Kitintale n’abatuuze, era atwaliddwa ku Poliisi ya Jinja Road.

Omubbi omulala, awandagaza amasasi mu bbanga, okutiisa abatuuze ne Poliisi wabula owa UPDF abadde akuuma amaka g’omu ku batuuze e Bugolobi, amukubye amasasi, agamutiddewo.

Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti Poliisi etandiise okunoonyereza wadde omu ku babbi attiddwa – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=33s