Kkooti enkulu mu Kampala egobye okusaba kwa Dr. Kizza Besigye myaka 69 ne Hajji Obed Lutale myaka 65, okuyimbulwa.

Besigye ali ku misango gy’okulya mu nsi olukwe n’okumanya ku misango egyo ne basirika ng’ali ne Hajji Lutale, ssaako munnamaggye Capt Dennis Oola.

Kinnajjukirwa nti

Besigye, ne Lutale, babakwatirwa mu ggwanga erya Kenya mu kibuga Nairobi nga 16, November, 2024.

Nga bakwatiddwa, baleetebwa mu Uganda era ne batwalibwa mu kkooti y’amaggye e Makindye nga 20, November, 2024.

Nga 31, January, 2025, kkooti ensukkulumu yaggyawo kkooti y’amaggye olw’engeri gye yalimu.

Oluvanyuma nga kkooti y’amaggye egiddwawo

21, Febrary, 2025 ku Besigye ne Hajji Lutale ne batwalibwa mu kkooti e Nakawa, okubasomera emisango gy’okulya mu nsi olukwe n’okwekobaana okuzza emisango.

Wabula mu nsala y’omulamuzi Emmanuel Baguma owa Kkooti enkulu mu Kampala, agamba nti okuva nga 21, Feb, 2025 okutuusa nga 28, May, 2025, lwe batwala omusango mu kkooti enkulu, ennaku 180, zaali tezinawera, okugamba nti Besigye ne munne, bayimbulwe, olw’okumala ennaku 180 nga bali ku limanda e Luzira ate nga omusango tegusindikiddwa mu kkooti enkulu.

Olw’ennaku okuba entono, nga zaali 97, Omulamuzi Baguma agamba nti, Bannamateeka ba Besigye balina kwetekateeka okulinda okuwolereza abantu baabwe mu kkooti enkulu kuba kati, emisango gyatuuka dda mu kkooti enkulu.

Ensalawo y’omulamuzi Baguma eyisiddwa ku mitimbagano, etabudde bannamateeka ba Besigye ne Lutale.

Erias Lukwago, munnamateeka

Munnamateeka Ssalongo Erias Lukwago, agamba nti ebisaliddwawo omulamuzi, kyabulabe nnyo eri enkola eyamateeka.
Agamba nti bagenda kuwandikira ekitongole ekiramuzi okusaba omulamuzi omulala kuba Baguma alaze nti alimu kyekubira – https://www.youtube.com/watch?v=u3_K1riUEAU