Essanyu libugaanye abatuuze ne famire y’omuyimbi Desire Luzinda ng’omwana waabwe ava ku luggya.
Olunnaku olwaleero, ku kyalo Matugga, Katalemwa, Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso, Luzinda asobodde okwanjula bba omuyimbi Levixone mu bazadde.
Levixone, yazaalibwa – December 7, 1992 ng’alina emyaka 32 ate Desire Luzinda yazaalibwa nga August 15, 1984 ng’alina emyaka 40.


Ku mukolo, abayimbi bangi basobodde okukyamula abagenyi omuli Spice Diana, Lydia Jazmine, Maureen Nantume, David Lutalo, Carol Nantongo, Dax vybes, Ykee Benda,Mikie Wine, Gabie Ntate, Apass n’abalala.
Omuko Levixone awerekeddwako abantu ab’enjawulo omuli bannabyabufuzi, abayimbi, bannakatemba n’balala – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=233s

VIDIYO