Tugenda kubasiba, ow’emyaka 20 alaze kwatandikira…

Bannayuganda abalaga nti abeegwanyiza obwa Pulezidenti bwa Uganda, beyongedde obungi ng’olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri, omuwendo gwalinye okudda ku bantu 88.

Akakiiko k’ebyokulonda kali ku ddiimu ly’okuwa bannayuganda empapula abeegwanyiza obukulembeze bw’eggwanga lino, ezigenda okubayambako okwetekateeka mu kunoonya emikono 100 okuva mu disitulikiti 98 ng’omugate, buli muntu alina okuleeta emikono 9,800.

Ku mulundi guno, abavubuka bangi nnyo abavuddeyo era bagamba nti bavuddeyo okulaga nti basobola okukola ku nsonga zaabwe.

Voniter Nassanga, 20 nga muyizi ku Kampala International University, agamba nti singa alondebwa nga Pulezidenti wa Uganda, agenda kukola kyonna ekisoboka, okuleeta amateeka amakambwe ku basajja abeyongedde okusobya ku baana.

Nassanga agamba nti mu Uganda, abasajja beyongedde okudduka obuvunaanyizibwa bwabwe nga bangi ku bakyala batoba n’abaana baabwe era singa afuna omukisa okukwata obuyinza, agenda kuyamba nnyo abakyala okusobola okufuna entandikwa.

Ate Jolivious Akankwasa, agamba nti alina diguli nga musajja Yinginiya wabula kati ali mu myaka 5, talina mulimu.

Akankwasa agamba nti singa alondebwa ku bwa Pulezidenti bwa Uganda, agenda kukola kyonna ekisoboka, okulwanyisa ebbula ly’emirimu mu ggwanga.

Bangi ku bavuddeyo, bagamba nti betaaga Uganda ennungi omuli obwenkanya mu mbeera zonna – https://www.youtube.com/watch?v=ewB5PledrA0&t=9s

Tugenda kubasiba, ow’emyaka 20 alaze kwatandikira