Bobi Wine ne banne batutte Sipiika Among mu kkooti abitebye

Bannakibiina ki National Unity Platform (NUP) baddukidde mu kkooti ya sseemateeka, okuwakanya ekya Palamenti okuyisa etteeka ly’amaggye n’ekigendererwa eky’okutwala abantu babulijjo mu kkooti y’amaggye.

Bano, nga bakulembeddwamu Ssaabawandiisi w’ekibiina David Lewis Rubongoya, bagamba nti kikyamu Palamenti okutuula okuzaawo kkooti y’amaggye, okutwalayo abantu babulijjo ate nga kkooti ensukkulumu, bwe yali ewa ensala yaayo, nga 31, January, 2025,, yategeeza nti kimenya mateeka okutwala abantu babuligyo mu kkooti y’amaggye.

Mu kkooti, baloopye abantu 3 okuli

– Sipiika wa Palamenti Anita Among, eyakubiriza Palamenti nga bayisa etteeka

– Minisita w’ebyokwerinda, Jacob Oboth Oboth, eyaleeta etteeka

– Ssabawolereza wa Gavumenti Kiryowa Kiwanuka, eyalemwa okuwabula Gavumenti.

Rubongoya nga yegatiddwako abakulembeze abalala omuli

–  Akulemera oludda oluvuganya mu Palamenti Joel Ssenyonyi

– Omubaka wa Monisipaali y’e Mukono, Betty Nambooze

– Amyuka pulezidenti wa NUP,  Dr. Lina zedriga

– Omubaka omukyala owa Kampala, Malende Shamim

– Omubaka wa Kawempe North, Luyimbazi Elias Nalukoola ssaako n’abalala, bagamba nti Palamenti, yalemwa okugoberera amateeka nga bayisa etteeka omuli okwebuuza ku bantu.

Ku lw’ekibiina, Rubongoya agamba nti mu tteeka lyonna, bawakanya ekimu kimu, eky’okutwala abantu babulijjo mu kkooti y’amaggye, olwa Gavumenti, okweyambisa kkooti y’amaggye okutulugunya abantu baabwe nga basibwa – https://www.youtube.com/watch?v=71cKTCg92j4