Omuvubuka eyawa obujjulizi mu kkanisa ku misango gy’okutta muganzi we e Kabale, asindikiddwa ku limanda mu kkomera e Ndorwa.

Clinton Mwesiime, myaka 24 nga mutuuze mu Tawuni kanso y’e Hamurwa mu disitulikiti y’e Rubanda, yakwatibwa nga 9, August, 2025 oluvanyuma lw’okuwa obujjulizi mu kkanisa ya Phanero Ministries e Nakawa mu Kampala mu lujjudde ku by’okutta Leonada Kobusingye myaka 45 eyali omutuuze ku kyalo Ahataba mu ggoombolola y’e Hamurwa e Rubanda nga yali muganzi we.

Kobusingye, yattibwa mu loogi za Cheers Pub and Accommodation e Kabale kyokka  Mwesiime yakwatiddwa yali agenze mu kkanisa ng’asaba Omutonzi ekisonyiwo.

Kigambibwa omu ku bakozi b’oku loogi, bwe yali agenze okulongoosa ekifo kya loogi namba 7, kwe kusanga omulambo gw’omukyala nga yenna alina ebiwundu mu kifuba n’olubuto nga n’ekiso kiri ku mabbali ate ng’omusajja yadduse dda.

Amangu ddala, waliwo abakulu mu kkanisa abategeezako Poliisi era Mwesiime nakwatibwa.

Bwe yakwatibwa, yatwalibwa ku Poliisi ya Jinja Road kyokka oluvanyuma yatwalibwa ku Poliisi e Kabale, okusobola okutekateeka okutwalibwa mu kkooti.

Bwe yasimbiddwa mu kkooti esookerwako e Kabale mu maaso g’omulamuzi Derrick Byamugisha, yaguddwako emisango gy’obutemu era yasindikiddwa ku limanda okutuusa nga 8, September, 2025https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=235s