Ssemaka Mukisa Yusuf myaka 48, asingisiddwa emisango 5, omuli egy’okutta omwana we n’okusobya ku baana be 2.

Okunoonyereza kulaga nti Mukisa yafuna obutakaanya ne mukyala we Elizabeth Mbwali, ekyavaako omwana omu omulenzi okufa ku myaka 13 ate 2 ne basigala nga banyiga biwundu oluvanyuma lw’okubasobyako.

Wabula mu maaso g’omulamuzi wa kkooti enkulu etuula e Jinja, Joanita Gertrude Bushara, obujjulizi bulaga nti Mukisa, yaganza Mbwali gwe yasaanga n’abaana be kyokka olwafuna obutakaanya, obusungu bwonna, yabuzza ku baana.

Kigambibwa, obutakaanya bwasibuka ku ssente emitwalo 60, omukyala bwe yali atunze embizzi, kyokka nadduka okudda ewaabwe nga bba tamuwaddeko, ekyamutabula, okulumba abaana okubatusaako obulabe era nga mu kkooti, akkiriza emisango gyonna.

Mukisa, mutuuze ku kyalo Busamo mu disitulikiti y’e Kamuli, nga yakola ekikolwa ekyo mu May, 2022.

Omwana omulenzi Benjamin Mugaya, yamutema ebiso ku mutwe okutuusa lwe yafa ate abaana 2 okuli Prossy Babirye ne Joan Kaudha ne basigaza biwundu.

Ettemu lino, yalikola ekiro ku ssaawa 10 ku Ssande era baneyiba bawulira miranga, Mukisa ne bamukwata bwe yali agezaako okudduka ku kyalo.

Wabula Munnamateeka w’ekitongole ky’obwanakyewa ekya Kyampisa Child Care Ministries, Musujja Yekosi, agamba nti balinze nga 2, September, 2025 omulamuzi okuwa Mukisa, ekibonerezo ekimugwanidde – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=236s