Poliisi eguddewo omusango gw’obulagajjavu, ekyavuddeko Sawuna ku Buziga Country Resort e Makindye, okwabika nerumya abantu.

Sawuna, yalese abantu 3 nga bali mu mbeera mbi omuli n’okumenyeka amagulu omuli

Hajati Mastulah myaka 69 – Amyuka ssentebe w’ekyalo Katuuso, nga yafunye ebiwundu by’omuliro, omubiri gwonna.

Zahra Nakaweesi myaka 39, nga yafunye ebiwundu by’omuliro n’okumenyeka okugulu

 – Mamaram Aisha nga yafunye ebisago by’omuliro omubiri gwonna.

Mu kiseera kino, abalwadde bali mu ddwaaliro e Nsambya ne Mulago oluvanyuma lw’okugibwa mu ddwaaliro e Kiruddu.

Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, Luke Owoyesigyire, Sawuna yonna yaweddewo era mu kiseera kino, okunoonyereza kutandikiddewo.

Owoyesigyire agamba nti mu kiseera kino tewali muntu yenna akwatiddwa nga balina okunoonyereza okuzuula ani alina omusango – https://www.youtube.com/watch?v=_KIssLpgC-s